Wikipedia
lgwiki
https://lg.wikipedia.org/wiki/Olupapula_Olusooka
MediaWiki 1.39.0-wmf.25
first-letter
Media
Special
Talk
User
User talk
Wikipedia
Wikipedia talk
File
File talk
MediaWiki
MediaWiki talk
Template
Template talk
Help
Help talk
Category
Category talk
TimedText
TimedText talk
Module
Module talk
Gadget
Gadget talk
Gadget definition
Gadget definition talk
Nvumetta Ruth Kavuma
0
8119
26799
26672
2022-08-19T23:00:35Z
CommonsDelinker
82
Removing [[:c:File:Ruth-Kavuuma.png|Ruth-Kavuuma.png]], it has been deleted from Commons by [[:c:User:Didym|Didym]] because: [[:c:COM:VRT|No permission]] since 10 July 2022.
wikitext
text/x-wiki
'''Nvumetta Ruth Kavuma''' abasinga gwebamannyi nga '''Ruth Kavuma''' munabyabufuzi omunnyuganda, okwegatira mu kibiina ky'abanabizineensi n'okuba omusomesa. Yeyamukyala omufirika eyasooka okukulira esomero lya Gayaza High School okumala emyaka 11 wakati wa 1990 ne 2002.<ref name=":0">https://gayazaoldgirls.com/imt_team/hon-ruth-nvumetta-kavuma/</ref><ref name=":1">https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/kavuma-was-gayaza-high-s-first-ugandan-headteacher-1579192</ref> Oluvannyuma lw'okuba ku [[:en:Gayaza_High_School|Gayaza High School,]] yayingira eby'obufuzi n'afuuka omubaka [[:en:Member_of_parliament|omukyala owa palamenti]] mu palamenti ey'omunaana eya [[:en:Parliament_of_Uganda|Uganda]] ng'akiikirira disitulikiti y'e [[:en:Kalangala_District|Kalangala w]]<nowiki/>ansi w'ekibiina kya [[:en:National_Resistance_Movement|National Resistance Movement.]]<ref name=":0" /><ref>https://slideplayer.com/slide/6590900/</ref> Y'omu kubakyala abaatandikawo ekibiina ky'abakyala ekya [[:en:Forum_for_African_Women_Educationalists|Forum for African Women Educationalists]] (FAWE) n'afuuka ne ssentebe eyasooka okulembera boodi ya Uganda Chapter, ekitongole ekirwanirira eby'enjigiriza by'omwana ow'obuwala.<ref name=":0" />
== Obulamu bwe ==
Bamuzaala mu bizinga by'e Ssese nga kitaawe ye James Lutaaya n'abeerako mu Gayaza High School. nga alina abaana bana.<ref name=":1" />
== Eby'okusoma kwe: ==
Mu 1963, yeegata ku Gayaza Junior School gyeyava okugenda ku Gayaza High School mu 1970. Yali pulifekiti kweyateeka n'okuzannya Volleyball.<ref name=":0" /> Yasomera ku [[:en:Makerere_University|yunivasite y'e]] [[:en:Makerere_University|Makerere]] n'afuna diguli mu bya sayansi mu Physics, Chemistry n'okubala, oluvannyuma yasuula Chemistry ku lwa Psychology.
== By'azze akola: ==
Y'amyuka ssentebe w'ekitongole [[:en:National_Identification_and_Registration_Authority|ekiwandiisa bannayuganda.]]<ref>http://nilepost.co.ug/2020/01/14/joseph-biribonwa-appointed-new-nira-board-chairperson/</ref><ref>https://www.independent.co.ug/tag/ruth-nvumetta-kavuma/</ref><ref>https://www.nira.go.ug/about-nira/board-of-directors</ref><ref>https://www.newvision.co.ug/articledetails/1514964</ref><ref>https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=191829</ref> Y'omu ku bamemba b'ekibiina ekigatta ba minista n'abakiiririra palamenti mu Afrika ekya Network of African Ministers and Parliamentarians Uganda Chapter.<ref name=":0" /> Mulugendolwe olw'eby'obufuzii, mu palamenti ya Uganda yakolako mu kakiiko k'eby'ensimbi ekintu ekyamuwa akakisa okukwasizaako n'okufuna ebikozese okuyamba mu by'obulamu.<ref name=":0" /> Yaliko ssentebe w'ekibiina kya Mama Alive Initiatives (MAI) ne memba wa Network of Women Parliamentarians mu Uganda.<ref name=":0" /> Ali mu Rotary Club of Kampala mu bizinga by'e Ssese nga yakolako ng'omukulembezze wakyo eyavaako.<ref name=":0" /> Yakulemberako akakiiko akaali kasaganya okuzimba rotary baanka y'e ddwaliro ly'e Mengo.<ref name=":0" /> Memba w'akakiiko akavunaanyizibwa kusonga z'omwana ow'obuwala mu Uganda ng'ate memba w'akakiiko kakadukanya e Kisaakate Kya Nnabagereka.<ref name=":0" />
Mu bulamu bwe obwasooka, yakola ko nga yinginiya eyali atendekebwa ku ofiisi ezivunaanyizibwa mu kutambuza amabaluwa n'ebitereke wamu n'eby'empuliziganya. Nga wayise akaseera, yakizuula nti yali tayagala bya bwa yinginiya n'asalwo okudayo ku yunivasite e Makerere n'afuna dipulooma ey'okubiri mu by'okusomesa wakati wa 1979 ne 1980.<ref name=":1" /> Oluvannyuma lw'omusomo zino yatwalibwa ku Gayaza High School gyeyava okugenda mu by'obufuzi mu 2001 n'afuuka omubaka omukyala eyali akiikirira disitulikiti y'e Kalangala mu palamenti.<ref name=":1" /> Yalekulira eby'obufuzi ekyatiisa NRM ng'ekibiina ky'eby'obufuzi okuva eri abaali bagivuganya mu kutwala entebbe y'anaakiikirira disitulikiti y'e Kalangala.<ref>https://observer.ug/news-headlines/7766-kalangalas-kikoola-ruth-kavuma-leave-nrm-in-tight-corner</ref> Weyeegatta ku Gayaza High School okusomesa, yalondebwa ekibiina ekigata abazadde n'abasomesa, ng'akiikirira abasomesa.<ref name=":1" />Yalondebwa nga omumyuka w'akulira esomero, oluvannyuma n'aweebwa eky'okukulira esomero lino. Kino kyatukawo eyali akulira esomero lino Sheelagh Warren, yali awezezza emyaka 60 eg'okuwumula 60 nga addayo e Bungereza.<ref name=":1" /> Ensangi zino akola gwakubudabuda.<ref name=":1" />
== Laba ne bino ==
* [[:en:List_of_members_of_the_eighth_Parliament_of_Uganda|List of members of the eighth Parliament of Uganda]]
* [[:en:Gayaza_High_School|Gayaza High School]]
* Section about [[:en:Gayaza_High_School#Ruth_Nvumetta_Kavuma_(1990–2002)|Ruth Nvumetta Kavuma (1990–2002)]] on [[:en:Gayaza_High_School|Gayaza High School]]
* [[:en:National_Identification_and_Registration_Authority|National Identification and Registration Authority]]
== External links ==
* [https://www.parliament.go.ug/ Website of the Parliament of Uganda]
* [https://www.gayazahs.sc.ug/about/ Website of Gayaza High School]
* [https://www.nira.go.ug/about-nira/board-of-directors Website for Board of Directors-NIRA]
== References ==
pmy8ykrdjrnxnj7iz15qrjxl8noefj4