Wikipedia
lgwiki
https://lg.wikipedia.org/wiki/Olupapula_Olusooka
MediaWiki 1.39.0-wmf.23
first-letter
Media
Special
Talk
User
User talk
Wikipedia
Wikipedia talk
File
File talk
MediaWiki
MediaWiki talk
Template
Template talk
Help
Help talk
Category
Category talk
TimedText
TimedText talk
Module
Module talk
Gadget
Gadget talk
Gadget definition
Gadget definition talk
Embu z'Ebigambo
0
5980
26793
20797
2022-08-15T21:01:47Z
41.210.159.68
wikitext
text/x-wiki
Olubu tusobola okukiyita oluse omugwa omuntu, ekintu oba ekifo. Mu Luganda tulina ebigambo eby’enjawulo era ng’ebigambo bino kinnakimu birina embu mwe bigwa. Tulina embu z’ebigambo mwenda omugwa ebigambo by’Oluganda byonna era nga ze zino wammanga:
# Amannya
# Nakongezalinnya
# Ebikolwa
# Nakongezakikolwa
# Nakataba
# Nakasiba
# Nakasigirwa
# Ssenfo
# Obwewuunyi
==Erinnya==
Ekimiimo erinnya kitegeeza ekyo ekintu kye kiyitibwa.Okufaananako n’ennimi endala, mu Luganda namwo mulimu amannya agayitibwa oba agatuumibwa abantu, ebintu oba ebifo. Amannya gano galimu ebika ebiwerako wabula nga mulimu ebika ebikulu bibiri:
# '''Amannya ag’enkalakkalira'''
# '''Amannya ag’olukale'''
==Amannya ag’enkalakkalira (proper nouns)==
Gano gabeera mannya agatuumibwa abantu, ebintu n’ebifo, nga tegakyukakyuka era nga gasigalawo nga malamba ne bwe gaba nga gateereddwa mu mbu z’amannya ez’enjawulo.
Amannya gano gaawulwamu ebiti mukaaga era nga bye bino wammanga:
# Ag'abantu gamba nga Mukasa, Kizito, Mugerwa n’amalala.
# Ag’ebibuga gamba nga Kampala, Mukono, Nairobi.
# Ag’ebyalo gamba nga Kaabuwoko, Nakayiba.
# Ag’ensozi gamba nga Buddo, Naggalabi, Ndikuttamadda, Namirembe
# Ag’emigga okugeza Kiyira, Katonga
# Ag’ennyanja okugeza Nalubaale. Muttanzige.
# Ag’ebifo nga muno mulimu; ag’amasomero, amalwaliro, ebisaawe n’ebifo ebisanyukirwamu gamba nga; Namboole.
N'ebika ebirala.
Weetegereze:
1. Bulijjo bwe tuba tuwandiika amannya gano tugatandika na nnukuta nnene erinnya ne bwe liba nga liwandiikiddwa wakati mu sentensi okugeza;
* Omwana wa Musoke ye yamulumbaganye.
* Abaagenze e Namboole tebannadda.
2. Era bwe tuba tuwandiika amannya gano tugawandiika gokka nga tetugagasseeko kigambo kirala kyonna ekibeera mu sentensi.
==Amannya ag’olukale (common nouns)==
Gano gabeera mannya agatwalira abantu oba ebintu awamu era nga googera ku kintu oba ebintu eby’enkalakkalira.
Eby’okulabirako:
* Omulenzi
* Abasawo
* Abasomesa
Weetegereze: Amannya gano tegawandiikibwa na nnukuta nnene okuggyako nga gatabdika sentensi.
Eby’okulabirako:
* Twala abawala bazannye.
* Omusawo muntu mukulu nnyo.
Ebibinja by’amannya ebirala:
* '''Amannya g’ebintu ebitabalika'''
Waliwo ebintu mu Luganda nga birina amannya naye nga tebibalika. Kwe kugamba nti omuntu tayinza kugamba nti nnina kimu oba bibiri ng’ayogera ku bintu nga:
Amata, sukaali, amazzi, omunnyo, ettaka, omwenge n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.
Wabula, singa oba oyogera ku bika by’ebintu bino oyinza okulaga omuwendo gw’ebika, okugeza,
a) Ebika by’omuddo bibiri, kanyeebwa n’olumbugu bye bitutawaanya ennyo munnimiro zaffe.
b) Ntwalira ebika by’omwenge ebyo byombi obitunde.
Weetegereze:
Amannya gano tegawandiikwa na nnukuta nnene okuggyako nga ge gatandika sentensi.
* Amannya ag’ebintu ebibalika (countable nouns)
* Amannya ag’ebintu ebiyinza okubalika gagwa mu kiti kino era oluusi gatwalibwamu ag’olukale. Muno tulinamu amannya nga;
* Entebe, emmeeza, ennyumba, edduka, empale, ekitanda n’amalala.
==Amannya ag’ebibinja==
Gano ge mannya agoogera ku bintu ebingi naye nga biteereddwa mu ttuluba limu agamu ku go ge gano:
Eggye , eggana, ekibiina, ekinywa, omutwalo, oluwungu n’amalala.
==Amannya ag’ebintu ebitakwatwako==
Mu Luganda eriyo ebintu nga tubyogera lunye wabula nga tetusobola kubikwatako oba okubiraga bannaffe. Ebintu bino tubiwulira buwulizi oba tulaba abantu nga babikola oba oluusi ne tulowoozaako birowooze ebimu ku byo bye bino;
Empewo, akajanja, akababba, omukwano, ettima, ekiwuubaalo, essanyu, ebbula n’amalala.
ord7y8gl3ewh5o8x2o89xox79thwdqm
26796
26793
2022-08-15T21:03:26Z
41.210.159.68
/* Amannya */
wikitext
text/x-wiki
Olubu tusobola okukiyita oluse omugwa omuntu, ekintu oba ekifo. Mu Luganda tulina ebigambo eby’enjawulo era ng’ebigambo bino kinnakimu birina embu mwe bigwa. Tulina embu z’ebigambo mwenda omugwa ebigambo by’Oluganda byonna era nga ze zino wammanga:
# Amannya
# Nakongezalinnya
# Ebikolwa
# Nakongezakikolwa
# Nakataba
# Nakasiba
# Nakasigirwa
# Ssenfo
# Obwewuunyi
==Amannya==
Erinnya kitegeeza ekyo ekintu kye kiyitibwa.Okufaananako n’ennimi endala, mu Luganda namwo mulimu amannya agayitibwa oba agatuumibwa abantu, ebintu oba ebifo. Amannya gano galimu ebika ebiwerako wabula nga mulimu ebika ebikulu bibiri:
# '''Amannya ag’enkalakkalira'''
# '''Amannya ag’olukale'''
==Amannya ag’enkalakkalira (proper nouns)==
Gano gabeera mannya agatuumibwa abantu, ebintu n’ebifo, nga tegakyukakyuka era nga gasigalawo nga malamba ne bwe gaba nga gateereddwa mu mbu z’amannya ez’enjawulo.
Amannya gano gaawulwamu ebiti mukaaga era nga bye bino wammanga:
# Ag'abantu gamba nga Mukasa, Kizito, Mugerwa n’amalala.
# Ag’ebibuga gamba nga Kampala, Mukono, Nairobi.
# Ag’ebyalo gamba nga Kaabuwoko, Nakayiba.
# Ag’ensozi gamba nga Buddo, Naggalabi, Ndikuttamadda, Namirembe
# Ag’emigga okugeza Kiyira, Katonga
# Ag’ennyanja okugeza Nalubaale. Muttanzige.
# Ag’ebifo nga muno mulimu; ag’amasomero, amalwaliro, ebisaawe n’ebifo ebisanyukirwamu gamba nga; Namboole.
N'ebika ebirala.
Weetegereze:
1. Bulijjo bwe tuba tuwandiika amannya gano tugatandika na nnukuta nnene erinnya ne bwe liba nga liwandiikiddwa wakati mu sentensi okugeza;
* Omwana wa Musoke ye yamulumbaganye.
* Abaagenze e Namboole tebannadda.
2. Era bwe tuba tuwandiika amannya gano tugawandiika gokka nga tetugagasseeko kigambo kirala kyonna ekibeera mu sentensi.
==Amannya ag’olukale (common nouns)==
Gano gabeera mannya agatwalira abantu oba ebintu awamu era nga googera ku kintu oba ebintu eby’enkalakkalira.
Eby’okulabirako:
* Omulenzi
* Abasawo
* Abasomesa
Weetegereze: Amannya gano tegawandiikibwa na nnukuta nnene okuggyako nga gatabdika sentensi.
Eby’okulabirako:
* Twala abawala bazannye.
* Omusawo muntu mukulu nnyo.
Ebibinja by’amannya ebirala:
* '''Amannya g’ebintu ebitabalika'''
Waliwo ebintu mu Luganda nga birina amannya naye nga tebibalika. Kwe kugamba nti omuntu tayinza kugamba nti nnina kimu oba bibiri ng’ayogera ku bintu nga:
Amata, sukaali, amazzi, omunnyo, ettaka, omwenge n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo.
Wabula, singa oba oyogera ku bika by’ebintu bino oyinza okulaga omuwendo gw’ebika, okugeza,
a) Ebika by’omuddo bibiri, kanyeebwa n’olumbugu bye bitutawaanya ennyo munnimiro zaffe.
b) Ntwalira ebika by’omwenge ebyo byombi obitunde.
Weetegereze:
Amannya gano tegawandiikwa na nnukuta nnene okuggyako nga ge gatandika sentensi.
* Amannya ag’ebintu ebibalika (countable nouns)
* Amannya ag’ebintu ebiyinza okubalika gagwa mu kiti kino era oluusi gatwalibwamu ag’olukale. Muno tulinamu amannya nga;
* Entebe, emmeeza, ennyumba, edduka, empale, ekitanda n’amalala.
==Amannya ag’ebibinja==
Gano ge mannya agoogera ku bintu ebingi naye nga biteereddwa mu ttuluba limu agamu ku go ge gano:
Eggye , eggana, ekibiina, ekinywa, omutwalo, oluwungu n’amalala.
==Amannya ag’ebintu ebitakwatwako==
Mu Luganda eriyo ebintu nga tubyogera lunye wabula nga tetusobola kubikwatako oba okubiraga bannaffe. Ebintu bino tubiwulira buwulizi oba tulaba abantu nga babikola oba oluusi ne tulowoozaako birowooze ebimu ku byo bye bino;
Empewo, akajanja, akababba, omukwano, ettima, ekiwuubaalo, essanyu, ebbula n’amalala.
ok995v9vnepxdg3bvwlatnlhb9kkfoh
Aluminiyamu
0
6208
26794
21335
2022-08-15T21:02:42Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Aluminiyamu(Alminium)]] to [[Aluminiyamu]]
wikitext
text/x-wiki
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Akaziba ka Aluminiyamu era oyinza okukayita Atomu ya Aluminiyamu (Alminium atom) mu Luganda !
Aluminiyaamu:
• Akabonero: Al
• Namba ya akaziba: 13
• Kiva mu kya Lulattini alumen, oba"ekikaawa ennyo ".
Aluminiyamu bwe bumu ku buziba(atomu) obuzito ennyo , akatandikira okutondekebwa(okukolebwa) mu mulangaatira gw’enjuba omumyufu nga enjuba etandise okuzikira.
Akaziba (Atomu) ka aluminiyamu kaba n’obukontanyo 13, nampawengwa 14, n’obusannyalazo 13, n’olwekyo aluminiyamu kika kya “kyuma”. Mu kire ekyo ku ngulu mulimu obusannyalazo 3 ate ng’ekire kino kiyinza okwetikka obusannyalazo obutuuka ku kumi na munaana, ekitegeeza nti obusannyalazo buno obusatu buba buyayaanira okwegatta n’obusannyalazo okukola atomu endala eziriranyeewo.
Mu magombe g’ensi mulimu aluminiyamu mungi ddala. Mu butuufu aluminiyaamu y'endagakintu(element) esinga okusangibwa mu magombe g’Ensi, ng’ojjeko okisigyeni ne sirikoni. 8% ey’amagombe g’Ensi aba aluminiyamu kyokka aluminiyamu ono yenna yegattise n'obuziba obw’ebika ebirala kubanga aluminiyamu ng’ali yekka taba muggumivu (is unstable). Eky’okurabirako, endagakintu(elements) zino essatu ezisinga okukyaka zegatta okukola “ebbumba erya kooliini (kaolini clay), lino ng’ababumbi Abachina lye beyambisanga okukola “polisereeni“(Porcelain).
Mu nsi eyadda, abantu tebakozesanga aluminiyamu ku bubwe yekka kubanga tewaaliwo ngeri ya kumwawula n’ajjibwa mu atomu(obuziba) endala mw’asangibwa. Ku mulembe guno, tuyinza okwawula aluminiyamu nga tukozesea amasanyalaze ag’amaanyi amayitirivu. Tukozesa aluminiyamu mungi kubanga muwewufu ate nga mwangu okukolako ate nga tatalagga.
Ennyonyi okusinga zizimbibwa mu aluminiyamu era n’obukebe bwa sooda bukolebwa mu aluminiyamu. Eno y’ensonga lwaki kyetaagisa nnyo okuzza obugya (recycle) obukebe bwa soda okwewala okukozesa amasanyalaze ge wandikosezza okujja aluminiyaamu omujja mu atomu endala.
15h9ogfnsxjyeoc2inl5pewajyfq73j
Kololiini
0
6211
26797
21347
2022-08-15T21:04:31Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Kololiini (Chroline)]] to [[Kololiini]]
wikitext
text/x-wiki
Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Akaziba ka kololiini era oyinza okukayita Atomu ya Kololiini (Chlorine acid) !
Kiroliini (Chlorine):
• akabonero : Cl
• namba y'akaziba : 17
• kiva mu kya lugereeki khlôros (kiragala)
Kololiini ke kaziba(atomu) akalina obukontanyo 17 ate ng’etera okuba ne nampawengwa 18 oba 20 mu buziizi bwako(in its nucleus) n’obusannyalazo 17 obuweweenyuka okwetoloola obuziizi bwako.
Obuziba bwa kololiini okufaanana obulala obuwewufu okusingako nga obwa okisigyeni, butondekebwa munda mwa njuba ne bulyoka bumansuka okuyingira mu bwengula ng’enjuba efuuse semufu (supanova).
Ku nsi, kololiini akola molekyo ez'obuziba bwa kololiini bubiri. Kololiini ggaasi ya kiragala emperuufu (pale green gas). Obuziba bwa kololiinio(Atomu za kololiini) bulina obusannyalazo 2 mu kire ekisambayo ku buziizi(on the nucleus), obusannyalazo 8 mu kire ekyokubiri, obusannyalazo 7 mu kire ekisembayo ku ngulu. Kino kitegeeza nti atomu za kololiini si nzigumivu era zetaagayo okugattako akasannyalazo kamu kokka ku kire kino ekisembayo ku ngulu ekirina obusannyalazo musanvu. Kino kiba kifuula atomu ya kololiini okuba enzigumivu (stable).
Olw’okubaawo akasannyalazo kano akamu akabulako, obuziba(atomu) bwa kololiini, bwanguwa okwegatta n'obuziba obw’ekika ekirala kyonna obuba n’akasannyalazo kamu akayiseemu.
Sodiyaamu, ke kaziba( atomu) ek’ekika kino akasinga okubaawo era mu bwengula ne ku nsi obuziba bwa sodiyaamu ne kololiini bwegatta nga bweyambisa amazzi okukola molekyo y’omunnyo.
Kololiini era yegattika mangu n’amazzi okukola molekyo ya asidi okuva mu kaziba ka ayidologyeni, okisigyeni, ne kololiini era tukakozesa okutta bakitiriya mu mazzi, okulaba nga si ga bulabe kuwugiramu na kunywa.
Amazzi amakolonaate (cholinated water) gatta bbakitiriya kubanga gakutukamu kololiini ne okisegyeni. Kololiini ne okisigyeni byetaaga obusannyalazo obulala era bwegatta mu bwangu ne atomu ez’ebika ebirala.
Bwe bitomera bakitiriyamu, zegatta n’ezimu ku atomu ez’akabubi ka lipido (lipid membrane) ak’akataffaali ka bakitiriyamu. Olwo "akabubi ka lipido" (lipid membrane) ne katonnya. Kaba tekakyasobola kutereka katopulaazi (cytoplasm) munda mwa kataffaali nate era akataffaali kafiirawo.
arfbjmslsvugwrzm1z9mu78ilc9vsrw
Zzaabu
0
6216
26789
21352
2022-08-15T20:57:58Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Zzaabu (Gold)]] to [[Zzaabu]]
wikitext
text/x-wiki
Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Akaziba ka Zzaabu era kayitibwa Atomu za Zzaabu (Gold atom) mu Luganda .
Zzaabu (Gold) :
• akabonero : Au
• namba y'akaziba : 79
• Kiva mu kya lulattini aurum (zaabu). Mu kigereeso ky’abalooma, Aurora yali lubaali w’obudde obuwungeera (dawn)—nga olubaale lultunul nga kkala ya zaabu.
Akaziba ka Zzaabu kazitowa nnyo okusinga aka kkalwe, nga zaabu alina obukontanyo 79 n’obusannyalazo 79 mu buli kaziba(atomu).
Zzaabu muzito nnyo, ensonga lwaki emirangaatira gy’enjuba emimyufu tegisobola kumutondekawo okuyita mu “ngattiso za nyukiriya” (nuclear fusion). Engeri yokka ey’okutondeka zaabu nga omulangaatira gw’enjuba omumyufu gubwatuka okufuuka semufu (supanova).
Kino bwe kibaawo, tempulikya eziba waggulu ennyo mu kubwatuka, nga tempilikya zino ziba mu bikumi na bikumi bya bukadde bwa ddigiri, ziwaliriza atomu z’enjuba okwegattika awamu ne zitondekawo zaabbu ne atomu endala enzito ennyo nga yulaniyaamu. Zzaabu yenna mu bwengula yatondekabwawo mu kubwatuka kwa semufu kuno.
Kubanga zaabbu mugumu nnyo okukola, mu bwengula mulimu zaabbu mutono ddala okusinga bwe guli ne atomu eziwewuka nga k-mazzi, kaboni oba sirikoni. Olw’okuba zaabbu alabika bulungi, atwalibwa okuba nga wa muwendo nnyo.
cxkfa6qd2yrp5sbeokjd6p0lv3j7h4k
Fololiini
0
6275
26791
21351
2022-08-15T21:00:09Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Fololiini (Fluoline)]] to [[Fololiini]]
wikitext
text/x-wiki
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Fuloliini (Fluorine):
• akabonero: F
• namba y'akaziba : 9
• kiva mu kya lulattini fluo (okukulukuta )
o8111oeipqmn10cn6f236huu71pyxue
Zzaabu (Gold)
0
8152
26790
2022-08-15T20:57:58Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Zzaabu (Gold)]] to [[Zzaabu]]
wikitext
text/x-wiki
#REDIRECT [[Zzaabu]]
tcsad43u347756zg2pl2lowedc9j5cz
Fololiini (Fluoline)
0
8153
26792
2022-08-15T21:00:09Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Fololiini (Fluoline)]] to [[Fololiini]]
wikitext
text/x-wiki
#REDIRECT [[Fololiini]]
jifu6ncnbrubuxdk2r0fmus6u2xv5l0
Aluminiyamu(Alminium)
0
8154
26795
2022-08-15T21:02:42Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Aluminiyamu(Alminium)]] to [[Aluminiyamu]]
wikitext
text/x-wiki
#REDIRECT [[Aluminiyamu]]
iiing86tzuoqsqilkptrm9te7x4err5
Kololiini (Chroline)
0
8155
26798
2022-08-15T21:04:31Z
Infovarius
2651
Infovarius moved page [[Kololiini (Chroline)]] to [[Kololiini]]
wikitext
text/x-wiki
#REDIRECT [[Kololiini]]
5iuv4orlnu5z2tbb2lpmkbcr8aj9sgn